AB’EBITONGOLE by'obwannakyewa baagala gavumenti eyongere ku ssente mwebyo ebiyinza okuyamba eby’enfuna okuva awabi Covid-19 wabitadde. Abakulu bano beegatira mu kitongole ki Civil Society Advocacy Group [CSBAG]. Bakkiriza nti waliwo ekiyinza okukyuka singa ssente ziweerezebwa eri gavumenti z’ebitundu abantu gye basookera, mu by’obulamu n’ebyenjigiriza okusinga ekitundu ekisinga obunene ku zzo okuziteeka mu by’okwerinda. Abakola ku by’embalirira kyategeerekese nti eby’okwerinda bya kuno bategeka okubiteekamu obuwumbi 7,700 - bye bitundu nga 30 ku buli 100 ku ssente zonna ez’embalirira y’omwaka 2021/22.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit [ Ссылка ]
Follow us on Twitter [ Ссылка ]
Like our Facebook page [ Ссылка ]
Ещё видео!