Ekiri mu kibiina ki democratic Party kifumba mutuku. Abalwanyisa n’okuvumirira president w’ekibiina, Norbert Mao boongedde okukaawa.
Olwaleero, munnaDP era omubaka wa Masaka munisipaali, Mathias Mpuuga agambye nti ofiisi Mao mwakolera yeemufudde ow’ekitalo neyeerabira obuvunaanyizibwa bwe wabweru waayo nga kati atandise kuwalampa Buganda.
Kati Mpuuga ne banne bwebawakanya enkola ya Mao ey’emirimu, baagala kumusindiikiriza afulumeko ebweru, ategeere butya ekibiina bwekizingamye.
Ebyo nga bikyali awo, bannakibiina bateekateeka kukuba mu mbuga abasirikale ba poliisi abaabakuba, bwebaali bagenze e Masaka okutuuza olukungaana nga bakulembeddwa Betty Nambooze.
For more news visit [ Ссылка ]
Follow us on Twitter [ Ссылка ]
Like our Facebook page [ Ссылка ]
Ещё видео!