Omulamuzi Catherine Bamugemereire aliko omukungu mu minisitule y’ebyettaka gwalagidde akwatibwe embagirawo nga amulanga butabeera mwesimbu eri ebyo akakiiko kebibadde bimubuuza.
Poliisi ku biragiro bino, ekutte Louella Ataro bwabadde mu kakiiko kano olwaleero. Omulamuzi Bamugemereire asoose kulabula Ataro okwewala okuyisaamu akakiiko kano amaaso.
Ye eyali akulira ebyettaka mu wakiso, Satya Mangusho ategeezeza akakiiko nga wofiisi y’e ttaka e wakiso bwejjuddemu bakayungirizi, nga n’obuli bwenguzi beebana baliwo.
For more news visit [ Ссылка ]
Follow us on Twitter [ Ссылка ]
Like our Facebook page [ Ссылка ]
Ещё видео!